Katonda Ki Gwe Nsaanidde Okukolagana Naye? (Okuva 3:13)
Musa n’agamba Katonda nti,”Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe yantumye eri mwe;’ nabo balimbuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?” (Okuva 3:13)
Ekyawandikibwa kya leero kyandiwulikika nga ekyasaliddwamu mu makati nga bwobadde nga okisoma, si kyo? Ekifo ekiri mu kibuuzo kiggwa n’ekibuuzo, ” kiiki kye mba mbagamba bwe banambuuza Katonda ki antumye gye bali?”
Oluvanyuma lw’enkomerero ya ssemattalo ow’okubiiri, abantu ba Isiraeri abaali basaasanye okwetoolola ensi bakungaana mu kitundu ekya Palestina. Ekitundu ekyo kyali kyatwalibwa dda amawanga amalala naye tekikkirizika, abaisiraeri badda ku ttaka lye baali bafiirwa emyaka enkumi n’enkumi egiyise era ne bazzawo eggwanga lyabwe.Kyaali kya kyewuunyo. Ekintu ekitatera kubaawo mu bitundu ebirala kyali kibadde.
Naye ekintu ekyefaananyiriza ekyo kyaali kibaadewo emyaka 3500 egiyise. Abantu ba Isiraeri bwe baali babeera e Misiri, baali baddu. Mu budde obwo, Katonda yatuma omusajja eyali ayitibwa Musa okujjayo aba Isiraeri era okubakulembera mpaka mu kitundu ekya Palestina. Bwe kityo, kino kibaddewo mu nfunda biiri.
Era olunyiriri lwe twakasoma ky’ekyo Musa kye yagamba Katonda bwe yali amutuma e Misiri. Musa yali tasisinkanangako Katonda era gwe gwali omulundi gwe ogusoose okusisinkana Katonda ye bweyamugambira kino.
Tukolesa ekigambo “Katonda” era mu kuteebeereza okiwulira nnyo mu kkanisa. Newankubadde, ennukuta ennene “K” mu Katonda mu bayibuli yakozesebwa ng’ekigambo eky’enjawulo abakristaayo bwe bavvunula e Bayibuli. Ekigambo “katonda” kikozesebwa nnyo mu nsi yonna. Okutwaliza awamu, abantu bakolesa ekigambo ekirala okukyikirira “bakatonda” mu nnimi zaabwe. Okugeza, Abakorea bagamba “Haneunim”, era abayudaaya bakolesa ekigambo “Elohim.” Olwa katonda.
Olowooza nti eriyo bakatonda bangi mu nsi eno oba batono? Mu kuteebereza abantu abatakkiriza mu Yesu kino bakimanyi bulungi. Waliyo bakatonda abatalabika mu nsi. Bwe kityo ani ku bo gwe ngenda okusisinkana? Eno ensonga nkulu nnyo. Newankubadde nga omu yandigamba, “Siyagala nsisinkano yonna ne katonda. Njagala kusisinkana bantu bokka,” ekyo tekisooboka. Buli katonda wa njawulo mu buntu n’ekikula; abamu batuwa ekitiibwa abalala tebakikola.
Tekisoboka omuntu okubaawo nga ayawulidwa ku bakatonda. Ne Katonda eyalabikira Musa yali katonda. Katonda omulala yalabika naye Musa teyamanya katonda ki gwe yali. Yalaba bulabi ekisaka nga kikute omuliro naye nalaba nga ekisaka tekigya.Yalowooza nga sikyabulijjo era n’ayambuka okumpi alabe yekkaanye, era okuva mu kisaka mwavaamu eddoboozi ne limugamba,”Jja engatto ku bigere byo. Ettaka kw’oyimiridde ttaka litukuvu!” Bwe kityo yajjako engatto ku bigere bye n’ayimirira mu kukankana nga eddoboozi bwe lyamulagira.
Ggenda e Misiri ojjeyo abantu bange!”Musa eyali akankana yali teyekakasa era n’olwekyo yabuuza katonda,”Ggwe ani nti otuma nze? Newankubadde nga nkuwa ekitiibwa, abantu tebayogere nga bampakanya bwe banawulira bye mbagamba? Tebandibuuziza,”Ggwe ani nti tukugoberere okuva wano? Ani ono katonda eyakutumye? Era kiki kyemba mbaanukula?”
Ffe mu budde buliwo, tukkiriza nti Musa yali asisinkanye Katonda. Newankubadde, okusinziira ku Musa mu kaseera ako, yali asisinkanye katonda ow’ekika ekimu. Bwe kityo, bwe yabuuza,”Oli katonda kika ki? Nkwanjule ntya? “. Katonda ne yeyanjula. Era omwoyo kye yayogera kya mugaso nnyo. Yagamba,”NINGA BWE NDI”. NINGA BWE NDI.
Teri kitonde mu nsi munno kisobola kubaawo ku lwakyo okusinziira nga bwe tumanyi. Naffe tuliwo ku lw’ebintu ebirala. Ensonga lwaki nsobola okuyimirira wano kubanga waliwo ettaka wansi wange; nazaalibwa lwakubanga nina abazadde; nsobola okussa era okubeera omulamu kubanga waliwo omukka ogw’okussa, n’okweyongerayo. Tetusobola kubeerawo ku lwaffe. Naye, katonda ono yeyanjula nga “NINGA BWE NDI”. Era n’agenda mu maaso okwogera nti,”Nze Mukama Katonda owa Isaaka era Katonda wa Yakobo. Lino lye linnya lyange lubeerera, era kino ky’ekijjukizo kyange eri omulembe gwonna.’
Ku lwaffe, engeri gye tweyanjulamu eyawukana okusinziira ku kiba kibuuzibwa. Okugeza, nasanga akalenzi akato ne kambuuza,”Ggwe ani?” Awo nnyiza okuddamu,”Nze mukwano gwa kitaawo.” Ku mulundi omulala, nyinza okweyanjula nga ŋŋamba,” Nze musumba Ki-Taek Lee”. Mu mbeera endala, nyinza okugamba,” Ndi mutabani w’ono omwami.” Olw’ekyo, buli mulundi kiba kya njawulo. Ngeri ki eyandibadde esinga nze okweyanjulamu? Obudde bwolina gye bukoma okuba obutono, gyokoma okuteekamu endowooza mu kweyanjula, ssi kyo?
Musa bwe yabuuza, oyo katonda yayanukula,”NINGA BWE NDI”. Mu kaseera ako tetufudde ku kwanukula okuva eri katonda eyayogera ne Musa, naye ku kibuuzo kya Musa. “Katonda ki ono akutumye?” Ani ono katonda gw’okolagana naye kati kati?” Era nandiyagadde okubuuza kino eri mwena olwa leero. Bwolowoozzeza ku kino, wandiba nga obadde tolina kakwate konna ku bakatonda mpaka ne kati. Oba walibanga obadde n’akakwate akamu ku bakatonda abamu obwedda. Bwoba nga obadde n’akakwate ku katonda yenna, katonda ki oyo? Mu kujja wano, nawe ogezaako okusisinkana katonda omu.
Awo bwojja mu kkanisa, ekibuuzo kyolina okubuuza kye,” Katonda ani ono abakristaayo – abantu abali mu kkanisa – gwe bakiririzaamu?” Kubanga ekkanisa lukungaana lw’abantu abasinza ono katonda. N’olwekyo tetulina kuba na nsisinkano na buli katonda yenna. Ensisinkano yaffe ne katonda kintu kikulu nnyo, naye bwe tusisinkana omukyaamu, tujja kuba mu buzibu. Y’ensonga lwaki tulina okufaayo ku katonda kika ki ye kyali.
Mu buliwo nkulembera saavisi y’abachayina era abachayina abakolera mu Korea bajja ne babaawo mu saavisi eyo. Ku lw’okubiiri olumu nga enkuba ettonya, ow’oluganda omuchayina (mwami) yajja okundaba mu woofisi yange. Bulijjo abachayina bakola okuyita mu wiiki era si kyangu eri bo okukyaala ku lunaku olw’omu wiiki. Naye yajja enkuba ne bwe yali nga ettonya. Olw’ekyo namwaniriza bulungi munda. Ne mubuuza nga bwe yali era naŋŋamba nti yajja lwakubanga mukwano gwe yamugamba ajje. Olwasooka, newuunya ku ki kye yali ayogerako. Nabuuza ” Lwaki mukwano gwo yakugambye okujja mu kkanisa?” ” Simanyi. Yangambye bugambi nti nzijje mukkanisa nange ne nzijja”. “Mukwano gwo ono aluwa? Ye y’ani” era n’ayanukula,” Yazze nange”. Olw’ekyo nagamba,”Bambi mugambe ayingire munda!” Era awo n’agamba,” Ali ku mabbali gange”. “Ku mabbali go?” “Iye, attudde ku mabbali gange!” Olw’ekyo gwe yali ayita mukwano gwe yali ategeeza katonda. Yali awuliriza eddoboozi lya katonda ow’ekika ekimu era yali awuliziganya naye”. Yagamba nti bwe yazuukuka ku makya, katonda n’amugamba agendeko mu kkanisa era y’ensonga lwaki y’ajja.
Amangu ago nakitegeera ekyali kigenda mu maaso neŋŋamba, “O ddala? Oli kumpi nnyo ne katonda ono? Oli kumpi nnyo n’omuntu ono?” nakolesa bukolesa “ono” mu kaseera ako. “Oli kumpi nnyo naye?” Era n’agamba nti bwali. “Omwagala?” Yagamba nti amwagala nnyo. Awo ne mbuuza,”Lwaki omwagala?” “Anyamba nnyo”. “Kuva ddi nga omumanyi?” “Kuviira ddala nga nkyali muto, twakula nnyo ffembi!” “O, bwekiri? Naye lwaki omwagala? Akuyamba atya?” ” Bwemba nga simanyi kiki kyakukola, mpuliriza mukwano gwange kyaŋŋamba era buli kimu nekigenda bulungi. Olw’ekyo ne leero, nalowoozeza nti ekintu ekirungi kyandibaawo ssinga muwuliriza ne nzijja mu kkanisa”. Y’ensonga lwaki yali ajjidde mu nkuba ettonya.
Olw’ekyo, namunyonyola. Naye yali akimanyi nti ono yali katonda. Nagamba,” Katonda alabika okuba nga yakuwa obuyambi bungi mpaka ne kati. Naye obuyambi obwo tebugenda kuba nawe lubeerera. Kisobola okukuyamba olw’akaseera katono. Naye n’oyo katonda kitonde ekyatondebwa. Katonda oyo tasobola na kwerabirira. Katonda oyo tasobola kubeerawo ku lulwe. Tekijja kukugasa bw’onosigala okumpi ne katonda oyo. Era ttojjanga mu kkanisa bulijjo okusinza katonda omulala? Olina enkolagana ne katonda gwe twakwanjulira, era katonda owaffe tayagala ggwe okuba n’enkolagana okumpi ne katonda omulala.
Okuva mu mateeka Katonda ge yawa abantu ba Isiraeri okuyita mu Musa, elimu ku go ligamba,”Tobanga na bakatonda balala we ndi!”abantu abamu bakivvunula bubi nti nga,”Teri katonda mulala yenna okujjako Nze!” Era okuva awo ne bagenda mu maaso okulowooza nti teri katonda mulala mu nsi okugyako Katonda. Naye, ekyo si kituufu. Eriyo bakatonda abalala bangi mu nsi eno. Kubanga bangi nnyo, Katonda yawa eteeka eryo ,”Tobanga na bakatonda balala we ndi!” Bwe nali nga nfumbirwa, nagamba mukyala wange,”Bambi tokkirizanga musajja mulala yenna mu bulamu bwo”. Era awo ne muwasa. Nagamba ekyo kubanga eriyo abasajja abalala bangi mu nsi eno. Mu ngeri y’emu, waliyo bakatonda abalala bangi mu nsi eno, era katonda owaffe yagamba,”Tobanga na bakatonda balala we ndi!” Tayagala ffe tutabike ne bakatonda abalala. Ono ye Katonda gwe tusinza mu kkanisa yaffe.
Omusajja ono namugamba,” Katonda owaffe ye yatonda eggulu n’ensi”. Era ye yekka asobola okukuwa obulamu obutagwaawo era n’essanyu ery’amazima! Era katonda abaddenga nawe ajja kukuleetera okuzikirira! Olw’ekyo kkola okusalawo!” Era bwe yali awuliriza, katonda eyali mu ye ne yeelaga. Era katonda oyo n’atandika okwogera, n’akankana mu kutya era n’okukaaba. Yeelaga kyi kyali era n’okugamba n’agamba,” Okuva nga nkyali muto, nakula n’ono omwami!” Nasabira omwami era n’agwa wansi nga eyali yeebase. Awo bwe yazuukuka, yagamba,,”Lwaki ndi wano” Omusajja yali yafugibwa ddala ne katonda ono okuva ku makya ago era yaleetebwa mpaka mu kkanisa. Teyajjukira na kujjukira butya bwe yali atuuse awo. Yali atambulira wansi w’okufuga kwa katonda oyo era teyategeera na kutegeera lwaki yali wano.
Katonda ono yandiguze omusajja ono n’amutambuza newankubadde nga omusajja ono teyandikyagadde. Katonda ono yali wa kikula kya njawulo nnyo okwawukana ku Katonda ekkanisa yaffe gw’eyanjula gyoli. Buli katonda wa njawulo mu neeyisa, era Katonda owaffe mazima awa ekitiibwa ekyo kye tuli. Tajja kuyisa nsalo zo singa obeera nga tokyagala. Abazadde abasa ekitiibwa mu baana babwe tebalikaka kintu ku baana babwe newankubadde kirungi kitya kye kyandiba gye bali. Tebagenda kubateeka kintu mu kamwa kabwe lwa mpaka olwokubanga kirungi gye bali singa abaana babeera tebakyagala.
Mu ngeri y’emu, Katonda waffe naye alina ebirungi bingi eby’okutuwa naye talikaka kintu kyonna ku ffe. Y’ensonga lwaki abuuza. Bwe tuba nga twagala, olwo lwajja okukuwa ye kyalina Yoyo Katonda gwe nsisinkana yafananako bwatyo. Era waliwo engero nyingi mu bayibuli ez’abantu abasisinkana Katonda. Yono Katonda waffe.
Singa nnali wa kumwanjula mu bigambo ebyangu, kika kya Katonda ki kyali? Mu ngeri nyingi ze nsobola okumunyonyolamu naye Musa yayanjula Katonda ono eri Isiraeri mu ngeri eno; ” Katonda eyantumye ye Katonda abeerawo ku lulwe!” Bwe mbuuza abantu ab’enjawulo mu kkanisa,”Katonda wo wandimunyonyodde otya?” Abamu baddamu,” Ye Katonda ajjudde okwagala!” Abamu baagamba nga Musa bwe yayogera nti,” Ye Katonda abeerawo ku lulwe.” Abalala bayanukula mu ngeri endala nyingi,”Ye Katonda ajjudde obulamu!” “Ye Katonda eyatonda ensi!” “Ye Katonda eyatonda nze!” Era tusobola okugenda mu maaso bwe tuti lunaku lwonna. Tulina okusooma bayibuli yonna okumanya engeri zonna.
Naye olwokuba nina edakiika emu oba esigadde, bwe nkubuuza mu eyo edakiika emu oba biiri, “Katonda wo y’ani?” Kyakwanukula ki ekyandisinze okuba ekituufu era mu ngeri ki esinga okwanukula? Oluusi tufumita engalo zaffe bwe tutagaaya mmere, si bwetutyo? Era bwe tukola, mirundi emeka gye tufumita? Tulina okukafumita bulungi omulundi ogusooka era ne tuleka omusaayi okufuluma. Mu ngeri y’emu tuteekwa okusobola okuwa eky’okuddamu ekimatiza bwe tubuuzibwa,”Katonda wo y’ani?” Era naabagamba.
Katonda gwe muteekwa okusisinkana mu kkanisa yaffe ye … mwena muwulidde ku Yesu? Yesu! Yajja mu nsi ya Isiraeri emyaka 2000 egiyise n’akola ebikolwa ebirungi bingi. Teyakoma awo, abantu abatwalibwa nga abakulu bajjuzibwa obusungu gy’ali era ne basaba attibwe. Mu nkomerero, yawozesebwa mu kkooti y’abaruumi era n’akomererwa era nafa bubi nnyo. Omusajja oyo okuva e Nazareesi yafa. Naye abantu be bamutta. Amaazi ge gonna era n’omusaayi byayiyibwa bwe yafa. Naye Yesu yazuukira neera mu bulamu. Ku lunaku olw’okusatu oluvanyuma lw’okufa kwe, abantu bagenda ku ntaana ye okusanga entaana enkalu. Oluvannyuma ennyo, Yesu eyali azuukidde yalabikira abayigirizwa be. Kyaali kya kyewuunyo. Oyo Yesu singa nti yafa yakomawo atya mu bulamu? Bwaba yafa, ekyo kitegeeza nti tayinza okukola kintu n’ekimu. Olw’ekyo, waliwo omu eyamuzuukiza okuva mu bafu. Teyajja mu bulamu ku lulwe. Okufa kiteegeza omu tayinza kubaako kyakola. Naye mu mbeera nga eno, waliwo omu eyali amuzuukiza mu bulamu. Ekyo tekyakolebwa muntu naye Katonda omu.
Katonda gwe tukiririzaamu ye Katonda eyazuukiza Yesu okuva mu bafu okuzukizibwa. Katonda oyo kye yatusuubiza kye kino,”Ndi zuukiza buli omu akkiririza mu Yesu nga bwe nazuukiza Yesu mu bulamu!” Era y’omu eyasubiza nga agamba,”Nga bwentegekedde buli kintu ekirungi Yesu era ne muwa ettendo lw’omwoyo ery’omuggulu, Ndi wa ebintu ebyo byonna eri abo abakiririza mu Yesu!” Katonda gwe nzikiririzamu ye Katonda eyatuma Yesu, oyo, omwagalwa we, okukuuma ekigambo kye mpaka ku nkomerero. Era mu kukola bwe batyo, ayagala ebintu bino ebirungi biweebwe abantu abalala bangi era n’abalala bangi. Bwe wabaawo ekintu kyonna ekirungi, tanoonya kukyeddiza, , naye ayagala okukigabana naffe. Ayagala era n’abo abandiba ababi gy’ali okugabana ku bintu bino. Alina ekikula ekitategerekeka eri omuntu. Y’ono Katonda gwe tuweereza. Katonda ono yazuukiza Yesu okuva mu bafu. Eyakola kino emyaka 2000 egiyise ali naffe ne Kati.
Bakatonda abamu mu nsi eno tebalina budde bungi bwe basigaza ku nsi. Abamu baliwo olw’akadde akatono era awo tebasobola kuzuulibwa, naye Katonda abaddenga akolera mu bantu olw’enkumi n’enkumi gy’emyaka kati, Ne kati akuuma ebisuubizo bye. Mbawa omukisa mwena mu linnya lya Yesu nti mulisisinkana Katonda ono.
Ate temwekiriza kusisinkana katonda yenna. Bwe mugamba,”Sifaayo gwe ani, naye jangu onyambe!”, katonda omu yandijja n’aleeta obulabe oba ebikolimo ku ggwe. Y’ensonga lwaki tolina kukwatagana na katonda yenna – yenna. Mu linnya lya Yesu mbawa omukisa nti mazima musisinkane Katonda eyakakasibwa enkumi n’enkumi gy’emyaka, Katonda ayoleseza ekikula kye kyonna, Katonda ayogedde ku kyi ky’akola era nakuuma ebigambo bye era Katonda atasonyiwa wadde omwana we yennyini, naye namutuwa okutulaga omukwano gwe era n’okututaasa. Mbawa omukisa mu linnya lya Yesu nti munasisinkana Katonda ono akakasiddwa, akkirizibwa, era asinzibwa abantu abangi. Ka nkusabire.
Katonda Kitaffe, newankubadde nga eriyo bakatonda bangi mu nsi muno, nkwebaza nti tuzze okusisinkana era okuweereza era okuyita nga Kitaffe Katonda oyo eyatonda ebintu byonna, afuga eri ebintu byonna nga omutonzi era eyazuukiza Yesu kristo okuva mu bafu. Yamba buli omu akungaanye wano okufuna bwe bumu obumanyirivu buno. Mu linnya lya Yesu. Amiina.
Musumba Ki – Taek Lee
Akulira obuweereza bwa Sungrak