Omwoyo – Ekitonde eky’olubeerera (Abaebbulaniya 4:12)

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. (Abaebbulaniya 4:12)

Ekyawandikibwa kye tutunulide olwa leero kivudde mu Abaebbulaniya 4:12. Bwensomye olunyiriri luno, lunzijukiza bwe nali mu China emyaka nga 15 egiyise. Nasoma oluchayina okumala emyaka nga ebiri era omusomesa wange mu obwo ibudde yalina okwagala kungi okunsomesa ebyo mu budde obutono – oluvanyuma lw’olusoma lumu – Nali nsobola okubuulira mu luchayina. Yansomesa bulungi nnyo era n’okwagala nti nange nayiga bulungi nnyo. Yalina emyaka nga 45 mu obwo obudde. Ndowooza lwali lwamukaaga. Nali mu bisulo nga nsoma bwe nawulira omuntu akonkona ku luggi lwange. Mu kadde ako, nali mu kisenge kyange ne mukyala wange era ffembi twali tusoma. N’olwekyo, naggulawo oluggi lwange ne nsanga omusomesa wange nga ayimiridde awo. Ye ate yali mukyala mubalagavu mu ndabika. Naye bwe namulaba mu maaso g’ekisenge kyange, ekitundu ku mubiri gwe kyalu kifunyibbwa. Amaaso ge, ennyindo, emimwa, omukono n’okugulu byali bwononebbwa. Nekanga nnyo era ne mbuuza,”Kiki ekyatuusewo?” Oluvanyuma lw’okuyingira munda, yatugamba nti ennaku ntono eziyiseko, yazuukuka okuva mu tulo twe ne yesanga mu mbeera eyo. Yagenda muddwaliro naye tebaayinza kumukolera wo kintu kyonna ne bamugamba alinde era alabe. Era ndowooza nti yalaba embeera ye nga ebuzabuza kwe kwesanga nga aseka ate bw’akaaba nga ayogera gye tuli. Yali nga talina kya kwogera nnyo olw’ekyo ekyali kituuse wo nti yaseka. Naye bwe yalowooza ku busobozi nti ayinza obutawona, yakaaba.

Simanyi nti oba lwakuba nali nzijudde okukiriza mu obwo obudde naye oluvanyuma lw’okuwulira emboozi ye, namugamba n’obukyamufu,”Kino ekintu kirungi!” nga setegereza, ekyo kye nayogera. Nakyogera lwakubanga nakkiriza nti gwali mukisa eri ye okufuna obumanyirivu mu Katonda omulamu. N’olwekyo, namugamba atuuleko wansi. Yali awelekeddwako omuntu omulala mu kadde ako, eyali mukwano gwe okuva mu US (Amelika) ebbanga ssi denne emabega. Mukwano gwe ono mu kutebereza yali yasisinkana Yesu nga amaze okugenda mu US era yali yakakomawo e China oluvanyuma lw’okutikirwa mu seminaliya.

Bombi nabatuuza era ne nsomera omusomesa wange. Abaebbulaniya 4:12. Ekigambo kya Katonda kiramu era kikozi! lugamba nti kifumita n’okwawula ne kyawula ennyingo n’obusomyo mu bigambo ebyangu kiringa okulongoosa. Kitegeeza nti ekigambo kya Katonda kigenda kutulongoosa. Kisala okusinga buli kitala kyonna. Kya bwogi nnyo nti tekilekawo kabonero k’okusala era kisobola okumaliriza okulongoosa. Kiki ekyandibaawo nga okozesa ekiso ekitalina bwogi okulongoosa? Ka tugambe omusawo omulongoosa yetaaga okubaaga olubuto lw’omulwadde. Singa ekyambe kyakolesa kiba nga tekirina bwogi, ekyo kyandibeera ekizibu, si kyo? Walina okubaawo olusala lumu olulungi, bwe kiba nga ssi ekyo, alina okutunga okuyitamu mu lususu. Awo bunene butya enkovu bwen’aba oluvanyuma? Naye ekigambo kya Katonda kya bwogi nnyo era nti omutendero mwangu era kibaawo mu bwangu, obutalekawo nkovu yadde. Namugamba,”Ekyo ky’Ekigambo kya Katonda nga bwekiri. Ekyo kye kitegeeza.”

Era mukwano gwe n’amugamba,”‘Ye ekyo kituufu! Bwokiririza mu Katonda, ojja kutereera mpola mpola!” Naye oluvanyuma lw’okuwuulira ekyo neŋamba,”Nedda! Ekyo ssi kituufu!” Olowooza lwaki nagamba nedda? Kiki ekyali ko w’omukwano oyo kyeyayogera kye sayagala? Sayagala ngeri mukwano gwe gye yagamba nti ajja mu mpola mpola okuteerera. Singa tusoma bayibuli n’obwegendereza, Yesu bwe yawonyanga abalwadde, yabassangako emikono oba nabasabira, era ku mikolo egimu, abalwadde baterezebwa mu budde. Naye ate, abasinga abalwadde bawo yezebwa awo wenyini. Amaaso g’omuzibe bwe gazibulwa, Yesu yabuuza,”Bameka abali awo?” era n’asobola okuddamu bameka abaliwo awo wenyini.

N’olwekyo nagamba omusomesa wange ddala nga Bayibuli bwegamba. “Kino ssi kituufu. Togenda kutereera mpola mpola. Tewali kubuusabuusa, bwokiriza nti ojja kuwona mpola mpola, oyinza okuwona mpola mpola. Naye ate, Ekigambo kya Katonda kisobola okukola amangu ago. Bwonokiriza ekigambo kya Katonda kati mu kaseera kano, ekyo ekigambo kiramu era kikozi era kijja okukola omulimu gwakyo amangu gano. Era omubiri gwo gujja kuwonyezebwa. Oba nga waliwo ekizibu ku obusimu bwo, Ekigambo kya Katonda kisobola okulongoosa ku busimu bwo ne kati!”

Bwenamaliriza okwogera, yabuuka okuva we yali atudde. Nga tanabuuka wagulu, yagamba ekigambo kimu kyokka.Amaaso ge gaggulwa bugazi era oluvanyuma lw’okwogera ekyo ekigambo ekimu, buli kitundu ky’omubiri gwe ekyali kikyusibwa kyusibbwa kyaddayo mu kifo kyakyo ekituufu. Kyanzijukizaamu lababandi(rubber band). Bwotwala lababandi, n’ogizingazinga era n’ogikasuka mu bbanga, lababandi yezungulula era n’eddayo mu nkula yayo entuufu. Mu ngeri y’emu, bwe namugamba, “osobola okuwonyezebwa kati!” Buli kitundu ky’omubiri gwe okutandikana n’amaaso ge byaddayo mu bifo byabyo ebituufu mu kaseera ako yagamba ekigambo kino kimu era nabuukabuukira wagulu ne wansi.

Olowooza kiki kye yayogera? Singa yakiririza mu Yesu, kiki kye yandigambye? Mu kuteebereza yandigambye “Amiina!” Naye teyali mukkiriza. N’olwekyo, olowooza yagamba ki? Yagamba,”Ddala?” Yagamba *****(Ddala?) era omubiri gwe ne gudabirizibwa.

Samusabira. Yawonyezebwa awo wenyini. Mu kaseera ako, abana ku ffe – Yye kenyini, mukwano gwe, nze Kenyini era ne mukyala wange – ffena twabuuka okuva we twali tutudde. Twatendereza Katonda, era bwe yamala okukkakana, kyeyasooka okwogera kyali eri mukwano gwe. Yagamba mukwano gwe,”Owaye, wagamba okiririza mu Yesu nawe. Lwaki tewangamba ku kintu ekyewuunyisa nga kino?” Mukwano gwe teyamanya kya kwogera. Mukwano gwe teyateeka bwesigwa bwe bwonna mu Katonda era teyamanya nti asobola okuyamba mukwano gwe amangu ago. Yalowooza bulowooza nti mukwano gwe yanditerera mpola mpola bwanakkirirza.

Mu budde obwo, nasobola nate okufuna obumanyirivu mu ki Ekigambo kya Katonda kyekiri. Ekigambo kya Katonda mazima kiramu era kikozi. Kino ssi kilowoozo ekitaliimu. Ebigambo by’abantu tebilina kye bili okujjako ebirowoozo ebitalimu. Era mu kukolesa ebigambo abantu basobola okunyonyola enkula ez’enjawulo oba okusendasenda abalala. Era olw’ekyo, omuntu alina enjogera eyamaanyi asobola n’okutambuza emitima gy’abantu. Basobola okumatiza abalala. Naye ate ebigambo by’abantu tebisobola kuddamu kugatta obusimu obukoseddwa. Naye ekigambo kya Katonda singa kiyingira omuntu, si kilowoozo bulowoozo kyetufuna mu ndowooza zaffe ; Ekigambo kya Katonda kya ddala, newankubadde tetukiraba. Era ebigambo bwe bijja munda mu ffe, kitambula era ne kikola nti kiwonya obusimu obukoseddwa era ne kijjamu obutoffaali bwa kookolo, era olw’ekyo tusobola okulaba okuwonyezebwa ddala okw’omubiri gwaffe awo n’awo.

Okukwatagana ku bintu bino, Yesu yagamba. ” Ebigambo bye mbagambye bye mwoyo!” Omwoyo. Tuli bitonde bya mwoyo naffe. Nabagamba kino wiiki ewedde. Mu mutima gwa buli muntu mulimu okuyaayana. Bwetuba abayala, twagala okulya; Bwe tunyogoga twagala kwambala engoye, n’ebyeyongerayo. Naye ate, okwo okwagala kwangu okukkusibwa. N’olwekyo, oluusi ngamba mukyala wange,”Togenda ku maduuka nga enjala ekuluma.” Ensonga eri nti, bwoba muyala ojja kwagala okugula buli kintu ku maduuka. Naye bw’olya omubiri gwo gukkusibwa amangu ago era notaddamu kuyoya meere. N’olwekyo, byetwagala ebisinga mu mitima gyaffe kwe kwegomba okw’ennyama yaffe ebiri ebyangu ennyo okukkusa.

Naye ate, emitima gyaffe girina kuno okwagala okuyaayana okw’emirembe n’emirembe.” Mpa okwagala okw’olubeerera! Mpa Essanyu ery’olubeerera! Nkwagala lubeerera era njagala nawe onjagale lubeerera!” Naye emibiri gyaffe tegyagala bya lubeerera. N’olwekyo ate lwaki njayanira ekintu eky’olubeerera? Kubanga waliwo mu nze ekiramu eky’olubeerera. Era ekyo ekitonde kiyitibwa, Obulamu – Omwoyo.

Akamu ku bubonero  bw’ekitonde kino eky’olubeerera nti tekisobola kulabibwa n’amaaso gaffe. Yensonga lwaki abantu balowooza nti tekiriyo. Ani omulala ali omulamu olubeerera? Katonda! Naye tasobola kulabibwa. Olw’ekyo, abantu bagamba ,”Tewaliyo Katonda”. Waliwo ne bamalayika be tutasobola kulaba n’amaaso gaffe. Era abantu bagamba nti tebaliyo kubanga tebasobola kubalaba. So nga ate, bonna gyebali lubeerera.

N’olw’ekyo, kye twetaaga okutegeera ku kigambo kya Katonda nti tekili nga ebigambo by’omuntu, Ekigambo kya Katonda kisigalawo lubeerera.Ekigambo kitonde ekitaggwaawo.Ekitonde ekitaggwaawo. N’olwekyo, bwe tufuna ekigambo kya Katonda, tekibula wabula kisigala lubeerera. Singa ekigambo kya Katonda tegwali mwoyo era nga tekiliyo lubeerera, awo newankubadde ebirowoozo byange byandikyuuka okusinzira ku by’olubeerera n’ebyomwoyo, Katonda byawadde era bye tulina okufuna.

Kyali ku lwaffe okufuna kino nti Katonda yatutonda nga tuli bitonde  eby’omwoyo. Abantu tebamanya nti balina obulamu – omwoyo era bakiriza nti ennyama yabwe kyekyo kye bali bbo. Naye tuli bitonde bya mwoyo. Era okutuwa ekyo eky’olubeerera, Katonda yatuma mutabani we Yesu Kristo tusobole okumanya Katonda era tuggule emitima gyaffe bugazi eri Katonda. Atuwadde ekisa nga kino.

Si lwakubanga omusumba y’ayogera nti buli kyayogera mu kadde konna kiba kigambo kya Katonda. Naye waliwo ebigambo omusumba byabulira mu linnya lya Katonda, okuyitira mu kulungamizibwa kwa Katonda era n’okwesigama ku mwoyo gwa Katonda. Era bw’obikiriza n’okukiriza, bye mwoyo – ekitonde ekitaggwaawo.

Nja kugabanayo obujulizi bumu. Bwe nali mbulira e China, nabuulira okumala essawa nga 12 olunaku. Mu kadde ako, saali musumba. Nali nakajja okukiririza mu Yesu mu myaaka nga 5 okutuuka ku ekyo. Nali mulayiki yekka. Bulijjo nga bwewabbawo enkungaana z’okuzuukira, abantu basigalanga batudde olunaku lwona nga tebavuddewo okujjako bwe bali bagenda okulya. N’olwekyo nali mbuulira okumala ennaku ezimu mu ngeri eyo awo ne ndowooza,”Huh? Ddala ndi mugezi mu kwogera?” Naye ekyo saakyaagalira ddala. Sayagala kuba mwogezi mulungi ennyo; nayagala ekigambo ekiva mu kamwa kange kibe kigambo kya Katonda, kye kiri, omwoyo. Olw’ekyo, nasaba eri Katonda ampe obujulizi.

Awo newabaawo ekyabaawo. Okuva ku lunaku olusooka, olw’okubiri era n’olwokusatu olw’olukungaana, waliwo omukyala eyali ayimiridde emabega nga awuliriza ekigambo. Olw’ekyo nalowooza nti yali asumagira nti yensonga lwaki yali ayimiridde emabega. Naye ku lunaku olwasembayo, lwe lwali olunaku lwe nalina okugenda oluvanyuma lw’olukiiko lw’okumakya, yali atudde awo mu maaso. N’olwekyo nga savisi tenaba kutandika, namubuuza,”Kijja kitya nti otudde mu maaso olwa leero?” Awo nasonga ku mwami eyali amutudde okumpi, gwe nali sisisinkanangako, era nagamba,” Ono ye bazze!” Nemuddamu,”O, sisisinkanangako balo. Otela okugendako mu kkanisa?” Era nambuulira nti gwe gwali omulundi gwe ogusoose.

Ne mbuuza,” Wazze otya leero? Kiki ekyakuletedde okwagala okujja?” Era bba we n’ayanukula,”Nazze ekka ejjo era neekanze bwe nayingidde ennyumba”. “Lwaki nti ekyo?” “Mukyala wange yabadde atudde wansi nga akola emirimu egimu egy’awaka” “O, lwaki ekyo kyabadde kyakyekango gyoli?” “Mukyala wange yali nga tasobola kutuula okumala emyaka mingi kati. Yalina obuzibu n’omugongo gwe ekyali eky’obulumi obw’ekitalo ennyo nti kyali tekiteberezebwa gyali okutuula ko wansi. N’olwekyo yasigala nga ayimiride obudde bwona oba nga yebase ko wansi.” Kyeyavanga ayimirira obudde bwonna bwe yali awuliriza ekigambo. Yagenda mu maaso nayogera,”Naye olw’ejjo,namusanze awaka nga atudde wansi era nga ayoza endokwa ez’ebijanjaalo! N’olwekyo namubuuziza kiki ekyabaddewo era naŋamba yagenze mu Kkanisa era bwe yabadde awuliriza ekigambo kya Katonda yawonyezebbwa!”

Mu byaddala, samanya nti yawonyezebwa bwe batyo mpaka olwo. N’olwekyo, namubuuza,”Wawonyezebbwa jjo?” Era naddamu nti bwe yali. “Ddi lwe wateredde?” namubuuza nayanukula nti bwe yali ayimiridde emabega nga awuliriza ekigambo, yali musanyufu nnyo, Yali musanyufu nnyo nti yali amweenya era nga bwasekaseka nga bw’awulirirza. Era mu kaseera ako ak’okuwuliriza, yawonyezebwa endwadde ye. Namubuuza,”Lwaki tewatugambye?” “O, nsonyiwa safuna mukisa kukugamba. Nayagade okugenda ekka eri baze mu bwangu era mugambe!”

“Kigambo ki kyenali mbulira mu ako akadde?” namubuuza. Mu kusaba okwo nali mbuulira,”Yesu yazuukira era n’agenda mu Ggulu. Naye yasubiza agamba,”Ndikomawo ntwale abo abakiririza mu Nze babeere nange eyo gyendi’. N’olwekyo, tetugenda kusigala ku nsi lubeerera naye tulibeera mu ggulu lubeerera. Yesu alikomawo okututwala! Yazuukira!” Bwe nagamba ekyo abantu bali basekera waggulu,”Hahaha!” Naye tekyali nti bali bajerega ekyo kye nayogera naye lwakubanga ba ssanyu nnyo. Ekyo kyali kintu kya njawulo. Abachayina bano mu budde obwo bali bantu ab’emitima emirongoofu ennyo. Abantu bwe baalinga baseka, yawulira ekintu ekijja mu ye era amangu ago n’awonyezebwa. Nasiima nnyo mu mazima bwe nawulira ekyo. Nali simusabidde naye kiki ekyamuwonya? Ekigambo. Kubanga ekigambo kyamuyingira, ekigambo kyamukolako era n’ekiwonya obuzibu bwe obw’omugongo.

Olw’ekyo kino ekigambo ssi bigambo bugambo. Kiramu lubeerera. Kiramu. Kikozi kubanga kiramu.Kye kiva, kisobola okuwonya endwadde zaffe, okulongoosa ku mubiri gwaffe, naye ssi ekyo kyokka, kisobola okuwonya endowooza zaffe. Ekisingayo obukulu, kisobola okuyitamu n’okwawula ne kyawula omwoyo era n’obulamu, olw’ekyo nti buli kimu mu ffe nekibikulwa bute mu maaso ga Katonda era tuleetebwa okwenenya era netufuna ekisa kya Katonda.

Ekigambo kyoli okufuna mu kkanisa, ekigambo ekiyinza okukukyusa ssi kigambo bugambo eky’omuntu. Era bwokiwulira nokitwala nga ekiramu eky’olubeerera nti Katonda kyakuwa ne “Amiina!” oba ate “Ddala?” awo ojja kulaba ekigambo nga kikola mu gwe.

Waliwo omuntu eyayagala okuva ku kufuuweta sigala naye natayinza. Naye n’akizuula,”O Katonda kino akigaana! Njagala kulekela awo okukikola awo! Naye siyinza n’amaanyi gange. Katonda nyamba!” Oluvannyuma lw’ekyo, bwe yatwala sigala, kyawulikika nga asesa era ow’ekitalo eri ye. Nawulira obujulirwa nga obwo. Kigambo kya Katonda kye kikola mu ffe. Mu linnya lya Yesu mbawa omukisa nti ekigambo kya Katonda kinabanga kikozi mu mwe!

Katonda kitaffe, yamba ffe abali wano leero, nti tetujja mu kkanisa okuwulira ebigambo by’omuntu oba eddoboozi ly’empewo, naye mu mazima tufune ekigambo – ekiramu eky’olubeerera – Katonda kyagaba ekiri ekiramu era ekikozi, olw’ekyo nti tusobole okunyumirwa buli kintu ekirungi kyotutaddeko. Bwe waba nga waliyo omuntu atali bulungi, nga Katonda bwakola mu ffe nga bwe tuwulira ekigambo, lekka ekigambo kya Katonda kibe kikozi munda mu bo basobole okufuna obumanyirivu mu kubeerawo kwa Katonda okulamu. Webale, Katonda. Mu linnya lya Yesu. Amiina.

Musumba Ki – Taek Lee
Akulira obuweereza bwa Sungrak